Romans 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka lyajja kwongera bwongezi nsobi; naye ekibi gye kyakomya okweyongera, n'eneema nayo gye yakomya okuyitirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amateeka gajja, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira, ekisa ne kisinga okusukkirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka gajja, okwonoona kulyoke kweyongere. Naye okwonoona gye kwakoma okweyongera, n'ekisa kya Katonda gye kyakoma okweyongera ennyo okusingawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira ekisa ne kisinga okusukkirira