Romans 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ekibi bwe kyakajjala nga kiyita mu kufa, n'eneema bw'erikajjala etyo ng'eyita mu butuukirivu okuleeta obulamu obutaggwaawo ku lwa Yezu Kristu Mukama waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, era n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu ne kituweesa obulamu obutaggwaawo, mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa, n'ekisa kya Katonda bwe kityo bwe kifugira mu butuukirivu, ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa era n'ekisa bwe kityo kiryoke kifuge olw'obutuukirivu okuweesa obulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.