Romans 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kristu, obudde bwe bwatuuka, n'afiirira ffe abatatya Katonda n'obwaffe nga bwe twali nga tetweyinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twali nga tukyali banafu, mu kiseera ekituufu Kristo naafiirira abatatya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twali nga tetweyinza, Kristo yafiirira aboonoonyi, mu kiseera Katonda kye yateesa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda.