Romans 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye Katonda yatwoleka nga bw'atwagala, anti twali tukyali boonoonyi, Kristu n'atufiirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwe twali nga tukyali boonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.