Romans 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitundu by'omubiri gwammwe temubiwanga kibi bikozesebwe okukola obubi, naye mwewe Katonda ng'abantu abavudde mu kufa ne mudda mu bulamu, ate n'ebitundu byammwe eby'omubiri mubiwe Katonda bikozesebwe eby'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwangayo bitundu byammwe eri ekibi okubikozesa obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abalamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubeeranga eby'okukozesa obutuukirivu eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era temuwangayo bitundu bya mibiri gyammwe eri ekibi, okubikozesa mu kwonoona, naye mweweeyo eri Katonda, ng'abantu abavudde mu kufa ne balamuka. Era mweweereyo ddala gy'ali, abakozesenga eby'obutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza obutuukirivu eri Katonda.