Romans 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akatono! Temumanyi nga bwe mwewa omuntu ng'abaddu nga mumuwulira, muba baddu b'oyo gwe muwulira: oba baddu b'ekibi ekitwala mu kufa, oba baddu b'obuwulize obutwala mu butuukirivu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu, muba baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ob'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nti ekyo kye mwewa ne mukiwulira ng'abaddu, oba kibi ekireeta okufa, oba obuwulize obuleeta obutuukirivu, muba baddu baakyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?