Romans 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda yeebale, nti newandibadde nga mmwe olumu mwali baddu b'ekibi, naye mwawulira n'omutima gwonna ekika ky'enjigiriza gye mwaweebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda yeebazibwe, kubanga mmwe abaali abaddu b'ekibi, mwawulira n'omutima gwammwe gwonna, ebyo ebiri mu njigiriza gye mwaweebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo y'okuyigirizibwa gye mwaweebwa;