Romans 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njogera ng'abantu aba bulijjo bwe boogera olw'okubeera obunafu bw'omubiri gwammwe. Ebitundu by'omubiri gwammwe nga bwe mwabiwaayo mu buseegu ne mu bugwenyufu obuyitiridde, kale nno ebitundu by'omubiri ebyo mubizze ku kuweereza obutuukirivu, mutukuzibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe, kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba abaddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byammwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Njogera ng'abantu obuntu bwe boogera, olw'obunafu bw'engeri mmwe ng'abantu gye mutegeeramu ebintu. Nga bwe mweweerangayo ddala mu bugwagwa ne mu kwonoona, ne mukola ebibi, bwe mutyo ne kaakano mweweereyo ddala mu butuukirivu, mulyoke mutukuzibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwammwe: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obutuukirivu okutukuzibwa.