Romans 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akatono! Ffe ekibi abaakibeerera abafu tuyinza tutya okukibeeramu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nedda n'akatono! Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda, tekisoboka. Ffe abaafa ne twawukanira ddala n'obulamu obw'ekibi, tuyinza tutya okubuddamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitalo. Abaafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?