Romans 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temumanyi nga ffe ffenna abaabatizibwa mu Kristu Yezu, twabatizibwa mu kufa kwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temumanyi nti ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, era twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temumanyi nti ffe abaabatizibwa ne twegatta wamu ne Kristo Yesu, twabatizibwa ne twegatta wamu naye mu kufa kwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?