Romans 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndaba mu batismu twaziikibwa wamu naye mu kufa; nga Kristu bwe yazuukira mu bafu olw'ekitiibwa kya Taata, naffe tulyoke tutambulire mu bulamu obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twabatizibwa, twaziikibwa wamu naye, ne tugabana ku kufa kwe, bwe tutyo nga Kristo bwe yazuukizibwa obuyinza bwa Kitaawe obwekitiibwa, naffe tubenga mu bulamu obuggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu olw'ekitiibwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.