Romans 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga twagattibwa wamu naye mu nfa ye, era tuligattibwa wamu naye mu nzuukira ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga twagattibwa wamu naye mu kufa kwe, era tuligattibwa wamu naye ne mu kuzuukira kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga twegatta wamu naye mu kufa kwe, era bwe tutyo tulyegatta wamu naye ne mu kuzuukira kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe