Romans 6:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti tumanyi nti Kristu ng'amaze okuzuukira mu bafu, takyaddayo kufa; olumbe terukyamulinako buyinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tumanyi nti nga Kristo bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tumanyi nti nga Kristo bwe yazuukira, takyaddamu kufa, okufa tekukyamufuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.