Romans 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, kazzi temumanyi – njogera eri abo abamanyi Etteeka – ng'etteeka omuntu limufuga ng'akyali mulamu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba temumanyi, ab'oluganda kubanga ŋŋamba abategeera amateeka, ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, (njogera n'abo abategeera amateeka), temumanyi nti amateeka omuntu gamufuga ng'akyali mulamu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba temumanyi, ab'oluganda (kubanga ŋŋamba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu?