Romans 7:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekibi kyeyamba akakisa k'ekiragiro ne kinnimba, ne kyeyamba ekiragiro okunzita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ekibi, bwe kyalaba we kisinziira olw'ekiragiro, ne kinnimba, era olw'ekiragiro ne kinzita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kinnimbalimba, ne kinzita nga kisinziira mu kiragiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ekibi, bwe kyalaba we kiyima olw'ekiragiro, ne kinnimba, ne kinzita olw'ekyo.