Romans 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ekirungi kye kyandeetera okufa? N'akatono! Wabula ekibi; ekyo kyandeetera okufa nga kiyita mu kiri ekirungi, kyo kiryoke kyeyoleke ng'ekibi, nga kiyita mu kiragiro kifuukire ddala ekibi okuyitirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ekirungi kyaleeta okufa gye ndi? Nedda n'akatono! Kyali kibi ekyaleeta okufa mu nze nga kuyita mu kirungi, mu ngeri nti ekibi ekyo kirabisibwe okuba ekibi, era okuyita mu kiragiro nfuuke omwonoonyi ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale olwo ekirungi kye kyandeetera okufa? Nedda, si bwe kiri. Naye ekibi kye kyandeetera okufa nga kiyita mu kirungi, ekibi kiryoke kyeyoleke nga bwe kiri ekibi, era olw'ekiragiro, ekibi ekyo kiryoke kyeyongere okulagira ddala obubi bwakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ekirungi kyafuuka kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibi kirabike okuba ekibi, kubanga kye kyandeetera okufa olw'ekirungi; ekibi kiryoke kyeyongerenga okubeera ekibi olw'ekiragiro.