Romans 7:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mmanyi nga mu nze, kwe kugamba nti mu mubiri gwange, temuli kirungi; kubanga okwagala okukola ekirungi mu nze mwe kuli, naye okukikola tekuliimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi; mpulira nga njagala okukola ekirungi, naye nga sisobola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nti mu nze, ng'omuntu obuntu, temuli kalungi n'akamu, kubanga newaakubadde nga njagala okukola ekirungi, naye nnemwa okukikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali.