Romans 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo omukazi etteeka limusiba ku bba ebbanga lyonna ng'akyali mulamu; naye kasita bba afa, ng'asumuluddwa ku tteeka erimusiba ku bba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyokulabirako: omukazi omufumbo etteeka limulagira okubeera ne bba, nga bba oyo akyali mulamu. Bba bw'afa, omukazi oyo aba takyafugibwa tteeka eryo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.