Romans 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo bw'abeera n'omusajja omulala nga bba akyaliwo, bamuyita mwenzi; sso bba bw'afa, ng'atakkuluziddwa ku tteeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala taba mwenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi, naye bba bw'afa, nga asumuluddwa eri amateeka, era bw'afumbirwa omusajja omulala olwo aba si mwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo omukazi bw'aba n'omusajja omulala, ng'ate bba akyali mulamu, ayitibwa mwenzi. Kyokka bba bw'afa, aba takyasibibwa tteeka eryo. Era bw'afumbirwa omusajja omulala, olwo taba mwenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe kityo bba bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wa busa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala.