Romans 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, abooluganda, nammwe mu mubiri gwa Kristu Etteeka mwalifuukira bafu, mulyoke mubeere ba mulala, b'oyo eyazuukira mu bafu, tulyoke tubalire Katonda ebibala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo, ab'oluganda, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe bwe mutyo bwe muli, baganda bange. Mwafa ne mwawukanira ddala n'Amateeka, kubanga muli bitundu bya mubiri gwa Kristo. Era kaakano muli ba Kristo oyo eyazuukira tulyoke tube n'obulamu obugasa mu kuweereza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo, baganda bange, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.