Romans 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso bwe twali tukyagoberera omubiri, amaddu gaffe amabi nga gamaze okusiikuulibwa Etteeka, gaakozanga ebitundu by'omubiri gwaffe ne bibala ebibala eby'olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe ne kubaliranga okufa ebibala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twali nga tukyafugibwa omubiri, Amateeka gaayongera amaanyi mu kwegomba kwaffe okubi, ne kukola mu mibiri gyaffe, okufa ne kweyongera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe okubaliranga okufa ebibala.