Romans 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati twatakkuluzibwa ku Tteeka, ne tubeerera bafu ekyo ekyatusibanga, kyetuva tusobola okuweereza mu ngeri empya mu mwoyo, naye si mu eri enkadde ey'ennukuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, tuleme okuweerereza mu nnukuta ez'edda, naye tuweerereze mu bulamu obuggya obw'Omwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano tetukyafugibwa Mateeka, kubanga twafa ne twawukana n'Amateeka agaatufuula abasibe. N'olwekyo Katonda tumuweereza mu ngeri empya eya Mwoyo Mutuukirivu, sso si mu ngeri enkadde ey'okugoberera Amateeka amawandiike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, ffe tubeerenga abaddu mu buggya obw'omwoyo, so si mu nnukuta ez'edda.