Romans 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga Mwoyo w'oli eyazuukiza Yezu mu bafu asula mu mmwe, eyazuukiza Yezu Kristu mu bafu emibiri gyammwe gino egy'okufa nagyo aligiwa obulamu era ng'ayita mu Mwoyo we abasulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga Mwoyo wa Katonda eyazuukiza Yesu, ali mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu, n'emibiri gyammwe egifa aligiwa obulamu ku bwa Mwoyo we ali mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.