Romans 8:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga temwafuna mwoyo gwa buddu okubazza mu kutya, naye mwafuna mwoyo gw'abaana abeebonanye, Katonda mwe tumukoowoolera nti: “Abba, Taata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “ Aba, Kitaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga temwaweebwa nate Mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, gwe tuukoowoola nti, “Aba! Kitaffe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu okudda mu kutya, naye mwaweebwa Mwoyo Mutuukirivu abafuula abaana ba Katonda, atusobozesa okuyita Katonda nti “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe.