Romans 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nno tuli baana, tuli basika, basika ba Katonda, era abasika awamu ne Kristu, singa tubonaabona wamu naye tulyoke tugulumizibwe wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe tuli abaana, era tuli basika, abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe tuli abaana be, tulifuna ebyo bye yasuubiza abantu be, era tulifunira wamu ne Kristo ebyo Katonda bye yamuterekera. Bwe tubonaabonera awamu ne Kristo, era tuliweerwa wamu naye ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era tulyoke tuweerwe wamu ekitiibwa.