Romans 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ndaba ng'ennaku ez'omu budde buno toyinza kuzigeranya na kitiibwa kiritwolekebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati, tekwenkanankana na kitiibwa ekigenda okutubikkulirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndaba ng'okubonaabona kwaffe okw'omu kiseera kino ekiriwo, tekuyinza kugeraageranyizibwa na kitiibwa ekiritulagibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.