Romans 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga etteeka erya Mwoyo ow'obulamu mu Kristu Yezu lyantakkuluza ku tteeka ery'ekibi n'olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe ne linziggya mu tteeka ery'ekibi n'ery'okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga etteeka lya Mwoyo, erituwa obulamu ffe abali mu Kristo, lyamponya etteeka erireeta ekibi era n'okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunziya mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa.