Romans 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ebitonde byassibwa mu kubeera entagasa, si lwa kweyagalira, naye lwa kubeera oli eyabifuula atyo, n'abissa mu kusuubira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebitonde biringa ebitalina mugaso, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyayagala bibeere bwe bityo mu kusuubira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitonde ebyo byafuuka ebitalina mugaso, si lwa kweyagalira, wabula ku bw'oyo eyayagala bibe bwe bityo. Naye waliwo essuubi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti