Romans 8:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si byo byokka naye naffe ffennyini, newandibadde nga tufunye ku bibala ebisooka ebya Mwoyo, tusinda muli munda nga tulindirira n'amaddu okwebonanyizibwa ng'abaana emibiri gyaffe bwe girinunulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era si bitonde byokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye si bitonde byokka, wabula naffe abaafuna Mwoyo Mutuukirivu ng'ekirabo kya Katonda ekisookera ddala, tusinda mu mitima gyaffe, nga tulindirira Katonda okutufuula abaana be, n'okununula emibiri gyaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.