Romans 8:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Mwoyo era atuyamba mu bunafu bwaffe, anti tetumanyi kwegayirira nga bwe tugwanira; ye Mwoyo yennyini atusabira ng'asinda ebitalojjeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe kityo Omwoyo atubeera mu bunafu bwaffe; kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Mwoyo bw'atyo atuyamba mu bunafu bwaffe, kubanga tetumanyi kusaba Katonda nga bwe kitugwanira. Naye Mwoyo yennyini atwegayiririra n'okusinda okutayogerekeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe: kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo yennyini atuwolereza n'okusinda okutayogerekeka;