Romans 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo oli ayeekebejja emitima gy'abantu ategeera bulungi ekiri mu mutima gwa Mwoyo, kubanga Mwoyo asabira abatuukirivu nga Katonda bw'ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Katonda akebera emitima gy'abantu, amanyi Mwoyo ky'alowooza, kubanga Mwoyo yeegayiririra abantu ba Katonda, nga Katonda bw'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye akebera emitima amanyi okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awolereza abatukuvu nga Katonda bw'ayagala.