Romans 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso tumanyi nga Katonda mu byonna akolerera bulungi abo bonna abamwagala, abo abaayitibwa okusinziira ku nteekateeka ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tumanyi nti abaagala Katonda era be yayita nga bwe yayagala, byonna ebibatuukako bibaviiramu ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.