Romans 8:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti bonna abo be yamanya okuva mu masooka, yabateebeza okutwala ekifaananyi ky'Omwana we, abeere bw'atyo omuggulanda mu b'oluganda enkumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abo bonna be yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Katonda yamanya dda abantu be, nga tebannaba na kubaawo, era yabategeka bafaanane Omwana we, Omwana we oyo alyoke abe omubereberye mu booluganda abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abeerenga omubereberye mu b'oluganda abangi: