Romans 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka kye litaasobola kukola olw'omubiri okulinafuya, Katonda yakikola ng'atuma Omwana we alina omubiri ddala nga guli ogw'ekibi ate olw'ekibi n'asalira ekibi omusango mu mubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda yakola amateeka kye gatayinza kukola, kubanga manafu olw'omubiri, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi, alyoke asalire omusango ekibi mu mubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka kye gataasobola kukola olw'okulemesebwa obunafu bw'omubiri, Katonda yakikola. Yasalira ekibi ekiri mu mubiri omusango okukisinga, bwe yatuma Omwana we yennyini, ng'alina omubiri ogufaananira ddala omubiri ogukola ekibi, alyoke awangule ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatuma Omwana we ye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi, n'asalira omusango ekibi mu mubiri: