Romans 8:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Be yateebeza bw'atyo, be bo be yayita; ate be yayita, be bo be yafuula abatuukirivu, ate be yafuula abatuukirivu be bo be yagulumiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo be yayawula edda, abo era yabayita, era be yayita, yabawa obutuukirivu, era be yawa obutuukirivu, ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo Katonda be yategeka, be bo be yayita. Era abo be yayita, be bo be yatukuza. Era abo be yatukuza, be bo be yawa ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era be yayawula edda, abo era yabayita: era be yayita, yabawa abo era obutuukirivu: era be yawa obutuukirivu, yabawa abo era ekitiibwa.