Romans 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani alibasalira omusango? Ye Kristu Yezu eyafa, ate nnyini n'azuukira mu bafu, oyo ali ku ddyo gwa Katonda, ate atusabira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani alibasalira omusango okubasinga? Kristo eyafa, era eyazuukira, oyo aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, ye atuwolereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira, ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.