Romans 8:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Olw'okubeera ggwe tuli mu kuttibwa olunaku lwonna, tuyisibwa ng'endiga ez'okutta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyawandiikibwa nti: “Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba, era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Olunaku lwonna tuli mu kabi ka kuttibwa ku lulwo. Tubalibwa ng'endiga ez'okuttibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa.