Romans 8:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
newandibadde obugulumivu, yadde okukka wansi, newandibadde ekitonde ekirala kyonna tekirisobola n'akatono kutuggya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristu Yezu Mukama waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
newaakubadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tebirisobola kutwawukanya na kwagala kwa Katonda, okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.