Romans 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo ekiragiro ky'Etteeka kituukirizibwe mu ffe mu mpisa zaffe abatagoberera mubiri wabula omwoyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula abagoberera Omwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo Katonda yakikola, ffe abatafugibwa mubiri, wabula abafugibwa Mwoyo Mutuukirivu tulyoke tutuukirize eby'obutuukirivu, Amateeka bye gatulagira okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutuukirivu bw'amateeka bulyoke butuukirizibwe mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula omwoyo.