Romans 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okussa omutima ku mubiri kireeta kufa, naye okussa omutima ku Mwoyo kireeta bulamu na ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'Omwoyo bwe bulamu n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwemalira ku by'omubiri kuleeta kufa, naye okwemalira ku bya Mwoyo Mutuukirivu kwe kuleeta obulamu n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okulowooza kw'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw'omwoyo bwe bulamu n'emirembe: