Romans 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omutima ogusimbye ku mubiri gwa bulabe eri Katonda; anti tegugondera Tteeka lya Katonda, n'okusobola tegusobola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tegufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegaguyinza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwemalira ku by'omubiri, kuleetera omuntu okuba omulabe wa Katonda, nga tawulira mateeka ga Katonda, era ddala tayinza kugawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga okulowooza kw'omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okuyinza tegakuyinza: