Romans 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe temugoberera mubiri, wabula Mwoyo, bw'aba nga Mwoyo wa Katonda asula mu mmwe; oli atalina Mwoyo wa Kristu, oyo taba wuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu Mwoyo, bwaba nga ddala Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe oba nga ddala Mwoyo wa Katonda ali mu mmwe, temufugibwa mubiri, wabula mufugibwa mwoyo. Oyo atalina Mwoyo wa Kristo, si wa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atuula mu mmwe. Naye omuntu bw'ataba na Mwoyo gwa Kristo, oyo si wuwe.