Romans 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tekiva ku kwagala kwa muntu, oba ku kufaabiina kwe, naye ku Katonda asaasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe kityo si lwa kwagala kwa muntu oba okufuba kwe, naye lwa kusaasira kwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo tekiva ku ebyo omuntu by'ayagala wadde by'akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira.