Romans 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Ekitabo ekitukuvu kigamba Faraawo nti: “Eno y'ensonga eyakunzisisaawo, njoleseze mu ggwe obuyinza bwange, erinnya lyange liryoke lirangirirwe mu nsi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti, “Kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke libuulirwenga mu nsi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyawandiikibwa kigamba Faraawo nti: “Nakutuusa ku bukulu, ndyoke njoleseze obuyinza bwange mu ggwe, era mmanyise erinnya lyange mu nsi zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.