Romans 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubumbi si y'alina obuyinza ku bbumba? Mu kitole ky'ebbumba kye kimu tasobola kubumbamu kibya kimu eky'okukozesa mu by'ekitiibwa n'ekirala eky'okukozesa mu bitali bya kitiibwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole ekimu okubumba mu ekibya eky'ekitiibwa, ne mu kirala ekitali kya kitiibwa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubumbi tayinza kukola ky'ayagala mu bbumba lye, ekitole ekimu n'akibumbamu ekibya ekyekitiibwa, n'ekirala ekigayibwa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole kimu okukola ekibya kimu eky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensonyi?