Romans 9:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba oli awo Katonda olw'okwagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa amaanyi ge, aguumiikirizza nnyo ebibya eby'obusungu ebyakolerwa okuzikirira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Katonda si ky'ekyo kye yakola? Yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe. Kyeyava agumiikiriza ennyo abo be yasunguwalira, abaateekerwateekerwa okuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira: