Romans 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'era bw'agamba mu Ozeya nti: “Abatali bantu bange ndibayita abantu bange, n'oyo ataali mwagalwa, ndimuyita mwagalwa wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu Koseya agamba nti, “Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga bw'ayogera mu Koseya nti, “Abataali abantu bange, ‘ndibayita abantu bange;’ Era n'oyo ataayagalwa, ndimuyita, ‘ayagaliddwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bw'agamba mu Kitabo kya Hoseya nti: “Abataali bantu bange, ndibayita abantu bange. Ne gwe nali ssaagala, ndimuyita mukwano gwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa.