Romans 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya ng'ayogera ku Yisirayeli aleekaana nti: “Omuwendo gw'abaana ba Yisirayeli ne bwe guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, abaasigalawo be baliwonawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti, “Newakubadde Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, naye kitundu butundu kye kirirokoka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yisaaya ayogera ku Yisirayeli n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Abantu ba Yisirayeli ne bwe balyenkana omusenyu gw'ennyanja obungi, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokoka: