Romans 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neegomba nze mwene kiryose nkolimirwe, nkutulwe ku baganda bange ab'ekika, bwe tuli ab'olulyo olumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nnandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nandyagadde nze mwene, nkolimirwe Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab'eggwanga erimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri: