Romans 9:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba, nteeka mu Siyoni ejjinja, omuntu kw'aneesittala; olwazi omuntu kw'aneekoona; buli yenna amukkiriza taliswazibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n’olwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olulibasuula; Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Laba nteeka mu Siyooni ejjinja eryesittalwako, olwazi olulibasuula. Era buli akkiriza oyo, taliswazibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.